20
Yekosafaati Awangula Abamowaabu n’Abamoni
1 Bwe wayitawo ebbanga, Abamowaabu n’Abamoni nga bali wamu n’abamu ku Bamoni ne balumba Yekosafaati okumulwanyisa.
2 Abasajja abamu ne bagenda ne bategeeza Yekosafaati nti, “Eggye ddene eriva e Busuuli okuva emitala w’Ennyanja ey’Omunnyo, likulumbye, era lituuse mu Kazazonutamali, ye Engedi,” 3 Yekosafaati n’atya nnyo n’amalirira okwebuuza ku Mukama, era n’alangirira okusiiba mu Yuda yonna. 4 Yuda yonna n’ekuŋŋaana okunoonya okubeerwa okuva eri Mukama okuva mu bibuga byonna ebya Yuda.
5 Awo Yekosafaati n’ayimirira mu maaso g’ekkuŋŋaaniro lya Yuda ne Yerusaalemi, mu yeekaalu ya Mukama mu maaso g’oluggya olupya, 6 n’ayogera nti,
“Ayi Mukama, Katonda wa bajjajjaffe, si ggwe Katonda ow’omu ggulu? Si ggwe ofuga obwakabaka bwonna mu nsi? Obuyinza n’amaanyi biri mu mukono gwo, n’okubaawo ne watabaawo n’omu ayinza okuyimirira mu maaso go. 7 Ayi Katonda waffe, si ggwe wagobamu abatuuze abaali mu nsi eno mu maaso g’abantu bo Isirayiri, n’ogiwa ezzadde lya Ibulayimu mukwano gwo okugibeerangamu emirembe gyonna? 8 Era bagibaddemu ne bazimbamu ekifo ow’okusinziza erinnya lyo, nga boogera nti, 9 ‘Bwe tulituukibwako akabi konna, oba ekitala eky’okusala omusango, oba lumbe, oba njala, tunaayimiriranga mu maaso go, ne mu maaso ga yeekaalu eno okuli erinnya lyo, ne tukukaabiriranga mu kulumwa kwaffe n’otuwulira era n’otulokola.’
10 “Naye kaakano laba, abasajja ba Amoni ne Mowaabu n’ab’oku Lusozi Seyiri, ab’omu kibangirizi kye wagaana Isirayiri okulumba bwe baava mu nsi y’e Misiri, era babeewala ne batagenda kubazikiriza, 11 laba bwe baagala okutusasula nga batugobaganya mu kifo kye watuwa ng’omugabo gwaffe. 12 Ayi Katonda waffe, toobasalire musango? Kubanga tetulina maanyi ga kulwana na ggye lino eddene eritulumbye. Tetumanyi kya kukola, wabula amaaso gaffe gatunuulidde ggwe.”
13 Abasajja bonna aba Yuda, wamu ne bakyala baabwe, n’abaana baabwe, n’abaana abasemberayo ddala obuto, ne bayimirira mu maaso ga Mukama.
14 Awo Omwoyo wa Mukama n’akka ku Yakaziyeeri mutabani wa Zekkaliya, muzzukulu wa Benaya muzzukulu wa Yeyeri, muzzukulu wa Mattaniya, Omuleevi ow’ezzadde lya Asafu ng’ayimiridde wakati mu lukuŋŋaana.
15 N’ayogera nti, “Kabaka Yekosafaati, ne Yuda yenna, n’abatuuze ba Yerusaalemi, kino Mukama ky’abagamba nti, ‘Temutya era temuggwaamu mwoyo olw’eggye eryo eddene, kubanga olutalo si lwammwe, naye lwa Katonda. 16 Enkya muserengete mubasisinkane; laba bajja kwambukira awalinnyirwa e Zizi, era munaabasisinkana ekiwonvu we kikoma mu ddungu lya Yerweri. 17 Tekijja kubeetagisa kulwana lutalo luno. Mubeere mu bifo byammwe, mube bagumu mulabe obuwanguzi Mukama bw’anaabawa mmwe Yuda ne Yerusaalemi. Temutya wadde okuggwaamu omwoyo; enkya mugende mubasisinkane, Mukama anaabeera nammwe.’ ”
18 Awo Yekosafaati n’avuunama amaaso ge ku ttaka, era ne Yuda yenna n’abatuuze bonna ab’e Yerusaalemi ne bavuunama wansi mu maaso ga Mukama ne bamusinza. 19 Abamu ku Baleevi, Abakokasi n’abalala nga Bakoola ne bayimirira okutendereza Mukama, Katonda wa Isirayiri, n’eddoboozi ery’omwanguka.
20 Ne bakeera mu makya ne bagenda mu ddungu lya Tekowa. Bwe baali nga bagenda Yekosafaati n’ayimirira n’abagamba nti, “Mumpulirize, Yuda n’abantu ab’e Yerusaalemi! Mube n’okukkiriza mu Mukama Katonda wammwe munaanywezebwa; mukkirize bannabbi be, munaalaba omukisa.” 21 Awo bwe yamala okwebuuza ku bantu, n’alonda abasajja ab’okuyimbira Mukama, n’okumutendereza olw’ekitiibwa ky’obutuukirivu bwe, abakulemberamu eggye, nga boogera nti,
“Mwebaze Mukama
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.”
22 Awo bwe batandika okuyimba n’okutendereza, Mukama n’ataayiza abasajja ba Amoni, n’aba Mowaabu, n’ab’oku Lusozi Seyiri, abaali balumbye Yuda, ne bawangulwa. 23 Abasajja ba Amoni n’aba Mowaabu ne bagolokokera ku basajja ab’oku Lusozi Seyiri ne babazikiriza, era bwe baamala okubazikiriza, ne bakyukiragana ne battiŋŋana.
24 Awo abasajja aba Yuda bwe baatuuka ku munaala ogw’eddungu, ne batunuulira eggye eddene, laba nga bonna mirambo egigudde, nga tewaliwo n’omu eyawonyeewo. 25 Yekosafaati n’abantu be bwe bajja okutwala omunyago, basangawo ebintu bingi n’engoye nnyingi, n’eby’obugagga bingi, okusinga n’ebyo bye baali basobola okwetikka. Baamala ennaku ssatu nga babisomba, olw’obungi bwabyo. 26 Ku lunaku olwokuna ne bakuŋŋaanira mu kiwonvu ekya Beraka, okutendereza Mukama, kyekyava kituumibwa Ekiwonvu kya Beraka, ne leero.
27 Oluvannyuma, buli musajja wa Yuda n’owa Yerusaalemi, nga bakulemberwamu Yekosafaati, ne baddayo e Yerusaalemi nga basanyuse, kubanga Mukama yali abawadde essanyu olw’okuwangula abalabe baabwe. 28 Ne bayingira Yerusaalemi, ne bagenda mu yeekaalu ya Mukama nga bakutte entongooli, n’ennanga, n’amakondeere.
29 Entiisa ya Mukama n’ejja ku bwakabaka bwonna obw’omu mawanga, bwe baawulira nga Mukama yalwana n’abalabe ba Isirayiri* Isirayiri, ssoma Yuda, kubanga Yekosafaati yafuganga Yuda. 30 Era obwakabaka bwa Yekosafaati ne buba n’emirembe, kubanga Katonda we yamuwa emirembe enjuuyi zonna.
Enkomerero ey’Obufuzi bwa Yekosafaati
31 Yekosafaati n’afuga Yuda. Yalina emyaka amakumi asatu mu etaano we yafuukira kabaka wa Yuda, era n’afugira emyaka amakumi abiri mu etaano mu Yerusaalemi, ne nnyina erinnya lye nga ye Azuba muwala wa Siruki. 32 N’atambulira mu kkubo lya Asa kitaawe, n’atalivaamu, era n’akola ebyali ebirungi mu maaso ga Mukama. 33 Naye ebifo ebigulumivu teyabiggyaawo, so n’abantu ne bataweerayo ddala mitima gyabwe eri Katonda wa bajjajjaabwe.
34 Ebyafaayo ebirala ebyaliwo mu mulembe gwa Yekosafaati, okuva ku ntandikwa ye okutuusa ku nkomerero ye, byawandiikibwa mu bitabo bya Yeeku mutabani wa Kanani, era biri ne mu kitabo ekya bassekabaka ba Isirayiri.
35 Bwe waayitawo ebbanga, Yekosafaati kabaka wa Yuda n’akola endagaano ne Akaziya kabaka wa Isirayiri, omukozi w’ebibi. 36 N’ateesa naye okuzimba ebyombo ebyamaguzi biseeyeeyenga okugenda e Talusiisi, era ne babizimbira mu Eziyonigeba. 37 Mu kiseera ekyo Eryeza mutabani wa Dodavaku ow’e Malesa n’ayogera ebyobunnabbi eri Yekosafaati ng’agamba nti, “Kubanga okoze endagaano ne Akaziya, n’omwegattako, Mukama alizikiriza by’okoze.” Era ebyombo ne bimenyekamenyeka, ne bitasobola kugenda Talusiisi.